Olwaleero Dr Col Kiiza Besigye , Obed lutale n’omujaasi Captain Denis Ola batandise okuwozesebwa mu kooti ezabulijjo mu butongole oluvanyuma lwa fayiro zaabwe okujjibwa mu kooti y’ammagye. Bano leero balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti esoookerwako atuula e Nakawa Esther Nyadoi kyoka babasindika ku alimanda okutuuka nga 7 omwezi ogujja. Tukitegedde nti Besigye ayimirizza nokwekalakaasa okw’okuzira emmere kwamazeeko ennaku 10 namba. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda