Akwatidde NUP bendera mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North Elias Luyimbazi Nalukoola azzeemu okutalaaga ekitundu kya Kawempe okusaggula akalulu ng'olwaleero abadde ku kisaawe kya Mbogo. Mu ngeri etali ya bulijjo, ab'ebyokwerinda boolesezza empisa ezitasangika, nga mpawo yadde omuwagizi w'ono gwe basonzeemu olugalo. Enjuyi zombi zikwataganye bulungi mu kusaggula ekkubo webayita n'okulungamya entambula okukendeeza ku kalippagano okutuuka gye bakupye olukungaana olusembyewo.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda