Waliwo omutuuze e Namuwongo eyeekokkola poliisi okumuzza e mabega oluvannyuma lw’emmotoka ye gye yali avuga mu nkola ya Uber okubbibwa ku poliisi we yali agisuza buli lwe yannyukanga. Ono ayagala bwenkanya oluvannyuma lwa Poliisi okwesuulirayo ogwa nnaggamba mu kunoonya emmotoka ye kuba abalina okuginoonya ate b’ennyini be baagibbako. Poliisi egamba fayiro y’omusango gw’okubula kw’emmotoka eno yaggalwawo dda oluvannyuma lw’obujulizi obwandivunaanye abasirikale baayo abaali bakuuma ku olwo okuba nti bwali tebumatiza. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda