MENU

Fun & Interesting

Waliwo abaagala okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya kube kwa buwaze

Akawungeezi 5,170 lượt xem 1 day ago
Video Not Working? Fix It Now

Waliwo ababaka mu palamenti n'abakugu mu nsonga z'akawuka akaleeta mukenenya, abawulira nga kyandisaanidde abantu okutandika okeberebwa ku buwaze akawuka kano, olwo kyanguyize eggwanga okumanya abantu b'alyo bwe bayimiridde.Bano babadde mu lukiiko mwe batudde okuwangana amagezi ku ngeri Uganda gy'egenda okulwanyisaamu akawuka kano oluvannyuma lwa America okuyimiriza obuyambi bw'ebadde egiwa okumala ennaku 90.Ebitundu 80% ku nsimbi Uganda z'ebadde ekozesa mu kulwanyisa kajjampuni zibadde ziva mu America wabula nga gye bujja, abawangaala n'akawuka kano bandisomoozebwa ng'obujanjjabi tebukyamala.#NTVNews #Akawungeezi

For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda

Comment